OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Buulira Amawulire Amalungi n’Essanyu
Wali owuliddeko ng’okaluubirirwa okubuulira? Oboolyawo bwe tuba tubuulira tutera okusanga abantu abateefiirayo oba abatukambuwalira, oba tuyinza okuba nga tutya okwogera n’abantu be tutamanyi. Ebintu ebyo bisobola okutumalako essanyu. Wadde kiri kityo, tuweereza Katonda omusanyufu, ayagala tumuweereza nga tuli basanyufu. (Zb 100:2; 1Ti 1:11) Ka tulabe ensonga ssatu ezandituleetedde okubuulira n’essanyu.
Ensonga esooka eri nti, obubaka bwe tubuulira buwa abantu essuubi. Wadde ng’abantu abasinga obungi baweddemu essuubi, tubazzaamu amaanyi bwe tubabuulira “amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi.” (Is 52:7) Ate era, amawulire amalungi naffe gasobola okutuleetera essanyu. N’olwekyo, nga tonnagenda kubuulira, fumiitiriza ku bintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okutukolera.
Ensonga ey’okubiri eri nti, amawulire amalungi ge tubuulira gaganyula abantu mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Bye tubayigiriza bibayamba okulekayo emize emibi ne bafuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. (Is 48:17, 18; Bar 1:16) Bwe tuba tubuulira tuba ng’abanoonya abantu abali mu kitundu ekiguddemu akatyabaga tusobole okubayamba. Wadde ng’abamu tebaagala kuyambibwa, tweyongera okunoonya abo abaagala.—Mat 10:11-14.
Ensonga ey’okusatu era esinga obukulu eri nti, bwe tubuulira tuweesa Yakuwa ekitiibwa. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira, Yakuwa agutwala nga mukulu nnyo. (Is 43:10; Beb 6:10) Atuwa omwoyo gwe omutukuvu tusobole okukola omulimu ogwo. N’olwekyo, saba Yakuwa akuyambe okufuna essanyu, kubanga essanyu kye kimu ku biri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag 5:22) Yakuwa asobola okutuyamba ne tusobola okubuulira n’obuvumu. (Bik 4:31) Olwo nno abantu ne bwe batasiima bubaka bwaffe, tusigala tuli basanyufu.—Ezk 3:3.
Ngeri ki gy’oyagala okwoleka ng’obuulira? Oyinza otya okwoleka essanyu ng’oli mu buweereza?
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, OKWESOMESA N’OKUFUMIITIRIZA BIJJA KUKUYAMBA OKUDDAMU OKUFUNA ESSANYU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki tusaanidde okufaayo ennyo ku kweriisa mu by’omwoyo, wadde nga tubuulira essaawa nnyingi buli mwezi?
Biki bye tuyigira ku Maliyamu?
Biseera ki bye wassaawo okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda?
Kiki ekikuleetera essanyu ng’ogenze okubuulira amawulire amalungi?