LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb16 Okitobba lup. 3-5
  • Amagezi Gasinga Zzaabu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Amagezi Gasinga Zzaabu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Laba Ebirala
  • Amagezi Aga Nnamaddala Galeekaanira mu Nguudo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • “Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • “Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Okitobba lup. 3-5

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ENGERO 7-11

Amagezi Gasinga Zzaabu

Minzaani ng’eriko omuzingo oguzitowa okusinga ebinusu ebya zzaabu
Mu Kyapa

Lwaki amagezi agava eri Katonda ga muwendo nnyo? Amagezi ago gayamba omuntu okwewala empisa embi n’okusigala nga mulamu. Gamuyamba okuba omusanyufu, okwogera mu ngeri ey’amagezi, n’okweyisa obulungi.

Amagezi gatuyamba obutaba ba malala

16:18, 19

Omusajja ow’amalala
  • Omuntu ow’amagezi aba akimanyi nti Yakuwa ye nsibuko y’amagezi gonna

  • Abo abalina ebirungi bye batuuseeko, oba abafunye enkizo balina okwegendereza ennyo baleme okufuna amalala

Amagezi gatusobozesa okwogera ebizimba abalala

16:21-24

Omusajja omu ayogera ng’omulala amuwuliriza
  • Omuntu ow’amagezi alaba ebirungi mu balala era aboogerako bulungi

  • Ebigambo eby’amagezi bisikiriza era biwoomerera ng’omubisi gw’enjuki; biba tebirumya balala

OBADDE OKIMANYI?

Omubisi gw’enjuki

Omuntu bw’alya omubisi gw’enjuki, omubiri gwe gufuna mangu amaanyi. Abantu bangi bagwagala nnyo olw’obuwoomi bwagwo, era gukozesebwa ng’eddagala.

Okufaananako omubisi gw’enjuki ogw’omugaso eri emibiri gyaffe, ebigambo ebirungi nabyo bituzimba mu by’omwoyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza