OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Osobola Okukigezaako Okumala Omwaka Gumu?
Kugezaako ki? Okuweereza nga payoniya owa bulijjo! Bw’onoogezaako, ojja kufuna emikisa mingi!—Nge 10:22.
BW’OWEEREZA NGA PAYONIYA, OSOBOLA . . .
okufuna obumanyirivu mu kubuulira, era n’okunyumirwa obuweereza bwo
okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. Gy’okoma okubuulira abalala ebimukwatako, gy’okoma okumanya engeri ze ez’ekitalo
okufuna essanyu eriva mu kukulembeza Obwakabaka mu kifo ky’okukulembeza ggwe by’oyagala, era n’essanyu eriva mu kuyamba abalala.—Mat 6:33; Bik 20:35
okubaawo mu lukuŋŋaana lwa bapayoniya olubaawo ng’omulabirizi w’ekitundu akyadde, okubaawo mu lukuŋŋaana olw’enjawulo bapayoniya lwe baba nalwo mu wiiki y’olukuŋŋaana olunene, n’okugenda mu Ssomero lya Bapayoniya
okufuna abayizi ba Bayibuli bangi
okumala ebiseera ebiwerako ng’obuulirako n’ababuulizi abalala, era nga muzziŋŋanamu amaanyi.—Bar 1:11, 12