Erifaazi:
Kirabika yali ava mu Temani ekyali mu nsi ya Edomu. Temani kyogerwako mu Yeremiya 49:7 ng’awaali wasibuka amagezi g’Abeedomu
Kirabika Erifaazi ye yali asinga banne obukulu n’ekitiibwa, era ye yabasooka okwogera. Yayogera emirundi esatu era yayogera ebigambo bingi okusinga banne ababiri
Ebitali bituufu Erifaazi bye yayogera:
Yabuusabuusa obugolokofu bwa Yobu era n’agamba nti Katonda teyeesiga baweereza be (Yobu 4, 5)
Yagamba nti Yobu yali yeetulinkiriza, nti Yobu yali mukozi wa bibi, era nti yali tatya Katonda (Yobu 15)
Yagamba nti Yobu yali wa mululu, nti teyali mwenkanya era nti omuntu si wa mugaso eri Katonda (Yobu 22)
Birudaadi:
Yali muzzukulu wa Suuli. Kirabika yali abeera kumpi n’Omugga Fulaati
Ye yali ow’okubiri okwogera, era naye yayogera emirundi esatu. Ebigambo bye byali bitono naye nga biruma okusinga ebya Erifaazi
Ebitali bituufu Birudaadi bye yayogera:
Yagamba nti abaana ba Yobu baayonoona era nti kyabagwanira okuttibwa. Ate era yagamba nti ne Yobu yali tatya Katonda (Yobu 8)
Yagamba nti Yobu yali mukozi wa bibi (Yobu 18)
Yagamba nti tekigasa muntu kukuuma bugolokofu bwe (Yobu 25)
Zofali:
Yali Munaamasi, era kirabika yali abeera mu bukiikakkono bwa Buwalabu
Ye yali ow’okusatu okwogera era yayogera emirundi ebiri gyokka. Ye yasinga okwogera ebigambo ebirumya n’okunenya Yobu
Ebitali bituufu Zofali bye yayogera:
Yagamba nti ebigambo bya Yobu byali tebiriimu nsa, era n’agamba Yobu okulekera awo okukola ebintu ebibi (Yobu 11)
Yagamba nti Yobu yali mubi nnyo era nti Yobu yali anyumirwa okukola ebibi (Yobu 20)