Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 7
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 7
Oluyimba 86 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
ia sul. 4 ¶1-15, akas. ku lup. 39 (Ddak. 30
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Ebyomumirembe 10-14 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Ebyomumirembe 13:13-22 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Ddala Sitaani Gyali?—td-39A (Ddak. 5)
Na. 3: “Kayisaali” Kitegeeza Ki?—nwt-E lup.1694 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”—Ebikolwa 14:22.
Ddak. 10: “Tuteekwa Okuyita mu Kubonaabona Kungi Okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.” Kwogera nga kwesigamiziddwa ku mulamwa gw’omwezi guno. Soma era onnyonnyole Ebikolwa 14:21, 22 ne 1 Peetero 4:12-14. (Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 15, 2014, lup. 13, kat. 3-6.) Mu bufunze, yogera ku bimu ku bitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza omwezi guno, era olage engeri gye bikwataganamu n’omulamwa gw’omwezi. Kubiriza buli omu okulaba vidiyo ‘Walk by Faith, Not by Sight’ basobole okweteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja.
Ddak. 10: Osaanidde Kuddamu Otya? (Bak. 4:6) Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Essomero ly’Omulimu, olupapula 69, akatundu 1-3. Laga ebyokulabirako bibiri. Mu kyokulabirako ekisooka, omubuulizi addamu bubi omuntu amukambuwalidde, era temuvaamu kalungi konna. Mu kyokulabirako eky’okubiri, omubuulizi asooka n’asiriikiriramu ng’omuntu amukambuwalidde, oluvannyuma amuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu, era omuntu oyo amuwuliriza.
Ddak. 10: “Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Kaabakuuku.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 74 n’Okusaba