Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 16
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 16
Oluyimba 17 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
ia sul. 2 ¶13-23, eby’okulowoozaako ku lup. 24 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Ebyomumirembe 26-29 (Ddak. 8)
Na. 1: 1 Ebyomumirembe 29:20-30 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: “Okutangirira” Kitegeeza Ki?—nwt-E lup. 1694 (Ddak. 5)
Na. 3: Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?—td-38A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Nze nnasiga, Apolo n’afukirira, naye Katonda ye yakuza.”—1 Kol. 3:6.
Ddak. 10: Weeyongere ‘Okufukirira’ Abasiimye Obubaka Bwaffe. (1 Kol. 3:6-8) Buuza ebibuuzo payoniya owa bulijjo n’omubuulizi. Balina nteekateeka ki ey’okuddira abo ababa basiimye obubaka bwaffe? Beeteekateeka batya? Bwe baddayo eri omuntu ne batamusanga, bakola ki okukakasa nti baddamu okumulaba? Birungi ki bye bafunye?
Ddak. 20: “Engeri Gye Tuyinza Okukozesaamu eby’Okuwuliriza Ebiri ku Mukutu Gwaffe.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nnyonnyola engeri ababuulizi gye bayinza okufuna eby’okuwuliriza ebiri ku mukutu jw.org. Bateereko ekimu ku byo bawulirize. Laga ekyokulabirako ekyaliwo ddala ekiri mu kitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Kozesa Omukutu Gwaffe ng’Obuulira—‘Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino,’” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2014.
Oluyimba 108 n’Okusaba