Enteekateeka eya Wiiki Etandika Jjuuni 15
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 15
Oluyimba 77 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 26 ¶1-9 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Samwiri 22-24 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Samwiri 22:21-32 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Buli Lunaku Olwatonderwako Ebintu Lwali lwa Ssaawa 24?—td-30B (Ddak. 5)
Na. 3: Okwagala n’Obuwulize Bireeta Essanyu—nwt-E lup. 26 ¶4-6 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Jjukira ennaku ez’edda.”—Ma. 32:7.
Ddak. 12: Muntu Ki Ayogerwako mu Bayibuli gw’Osinga Okwagala? Kwogera, nga kulimu n’okubuuza ebibuuzo. Sooka obuuze ebibuuzo abaana babiri oba basatu mu kibiina kyammwe. Buli omu mubuuze omuntu gw’asinga okwagala ayogerwako mu Bayibuli? Kiki omuntu oyo kye yakola ekyogerwako mu Bayibuli? Kiki ky’ayagala okukoppa ku muntu oyo? Oluvannyuma nnyonnyola engeri abaana gye bayinza okuganyulwa mu kukozesa bukaadi obukwata ku bantu aboogerwako mu Bayibuli obuli ku jw.org. (Buli mu Lungereza. Genda ku BIBLE TEACHINGS > CHILDREN.) Buli kakaadi kaliko ebikwata ku muntu oyo n’ebifaananyi bye, mmaapu eraga gye yali abeera, ekiseera we yabeererawo, era n’ebibuuzo bisatu ebimukwatako wamu n’eby’okuddamu. Buli kakaadi kasobola okuwanulwa ku mukutu gwaffe ne katerekebwa. Ekyo bwe kiba tekituukirawo mu kibiina kyammwe, kozesa Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli. Kubiriza abazadde abalina abaana abato okukozesa bukaadi buno okubayigiriza ku ‘nnaku ez’edda.’—Ma. 32:7.
Ddak. 18: “Okuyigira ku Babuulizi Abalina Obumanyirivu.” Kukubaganya birowoozo. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu ak’okubiri, saba abawuliriza boogere ebyo bye baayigira ku mubuulizi alina obumanyirivu nga babuulira naye.
Oluyimba 4 n’Okusaba