Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 15
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 15
Oluyimba 1 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 17 ¶9-16 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yoswa 6-8 (Ddak. 10)
Na. 1: Yoswa 8:18-29 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuwendo gw’Abo Abanaafuna Obulamu Obutaggwaawo ku Nsi Si Mugereke—td 18C (Ddak. 5)
Na. 3: Obulokozi Buva eri Katonda Okuyitira mu Kristo Yekka—td 19A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: Yogera ku ‘bintu ebirungi’ ebiri mu tterekero lyaffe eddungi.—Mat. 12:35a.
Ddak. 15: “Okuyigiriza Obulungi Abayizi ba Bayibuli.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe mumala okukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga ebyokulabirako bibiri ng’omubuulizi akubaganya ebirowoozo n’omuyizi we ku katundu 8 mu ssuula 15 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Mu kisooka, omubuulizi ayogera nnyo. Mu ky’okubiri, omubuulizi abuuza ebibuuzo asobole okumanya endowooza y’omuyizi we.
Ddak. 15: Ekitundu Ekinaatuyamba Okweteekateeka Okuyigiriza Abayizi ba Bayibuli. Kukubaganya birowoozo. Babuulire ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Kiki Bayibuli ky’Eyigiriza?” (What Does the Bible Teach?) ekiri ku jw.org. (Genda ku BIBLE TEACHINGS > TEENAGERS.) Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye tuyinza okukozesaamu ekitundu ekyo okuyigiriza abakulu n’abato Bayibuli. Ebibuuzo ebiri mu kitundu kino biyinza bitya okutuyamba okutuuka ku mutima gw’omuyizi? Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi yeewuunaganya. Akozesa ebimu ku ebyo ebiri mu kitundu ekyo okulowooza ku byetaago by’omuyizi we era ateekateeka ebibuuzo ebituukirawo by’anaamubuuza. Ng’ofundikira kubiriza abawuliriza okufuba okuba abasomesa abalungi basobole okutuuka ku mitima gy’abayizi baabwe nga bakozesa ebintu byonna ebirungi bye tulina.—Nge. 20:5.
Oluyimba 99 n’Okusaba