Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 1
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 1
Oluyimba 48 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 16 ¶18-22, akas. ku lup. 167 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyamateeka 32-34 (Ddak. 10)
Na. 1: Ekyamateeka 32:22-35 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?—rs-E lup. 380 ¶2–lup. 381 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Obulamu Obutaggwaawo Si Kirooto Bulooto—td-18A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Okugaba Magazini mu Ddesemba. Kukubaganya birowoozo. Laga ebyokulabirako bisatu ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa ku lupapula luno. Oluvannyuma lwa buli kyakulabirako, saba abawuliriza boogere ku nsonga lwaki ennyanjula eyo ejja kusikiriza abantu b’omu kitundu kye mubuuliramu.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Twakola Tutya? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere engeri gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okufaayo ku Oyo gwe Tuba Tubuulira.” Basabe boogere ebirungi ebyavaamu.
Oluyimba 119 n’Okusaba