Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 17
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 17
Oluyimba 26 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 16 ¶1-9 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyamateeka 23-27 (Ddak. 10)
Na. 1: Ekyamateeka 25:17–26:10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Obuvunaanyizibwa Abazadde Bwe Balina eri Abaana—td-17C (Ddak. 5)
Na. 3: Omukristaayo Alina Kufumbiriganwa na Mukristaayo—td-17D (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Muntu Wa Ngeri Ki Gwe Wandifudde Mukwano Gwo? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku vidiyo erimu bukatuuni (Whiteboard Animation) erina omutwe ogugamba nti What’s a Real Friend? (Eri ku jw.org mu Lungereza, genda ku BIBLE TEACHINGS > TEENAGERS.) Sooka obalage vidiyo eyo. Oluvannyuma, mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: (1) Ow’omukwano owa nnamaddala omulabira ku ki? (2) Ngeri ki z’asaanidde okuba nazo? (3) Oyinza otya okufuna emikwano emirungi? (4) Biki by’osaanidde okukola okunyweza omukwano gwammwe? Vidiyo eyo bw’eba teeragibwe mu kibiina kyammwe, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Awake! eya Jjuuni 2014, erina omutwe ogugamba nti: “Biki Ebinaakuyamba Okuba ow’Omukwano Omulungi?”
Ddak. 10: Okwagala Kutwawulawo. (Yok. 13:35) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2014, olupapula 48, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 49, akatundu 3; n’olupapula 69, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 70, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize.
Ddak. 10: “Ebirala Bye Tuyinza Okukola nga Tubuulira mu Bifo Omuyita Abantu Abangi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Ekitundu kye mubuuliramu bwe kiba nga kirimu ebifo omuyita abantu abangi, saba omulabirizi w’obuweereza ayogere enteekateeka ezikwata ku kubuulira mu bifo ebyo, era osabe ababuulizi boogere ku birungi ebivuddemu.
Oluyimba 92 n’Okusaba