Kozesa Buli Kakisa k’Ofuna Okubuulira Amawulire g’Obwakabaka!
1. Kiki kye tuyigira ku Kabaka Dawudi?
1 Kabaka Dawudi teyakkirizanga mbeera nzibu kumumalamu maanyi. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yali ayagala nnyo okuzimbira Yakuwa yeekaalu. Yakuwa bwe yamugaana okugizimba, Dawudi teyaggwaamu maanyi, wabula yakyusa ekiruubirirwa kye n’ateekateeka ebintu Sulemaani bye yandikozesezza okuzimba yeekaalu. (1 Bassek. 8:17-19; 1 Byom. 29:3-9) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku ebyo bye yali tasobola kukola, Dawudi yeemaliranga ku ebyo bye yali asobola okukola. Tuyinza tutya okukoppa Dawudi?
2. Kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola?
2 Kola Ekyo ky’Osobola: Bangi beerekerezza oba beggyeeko ebintu ebimu ne batandika okuweereza nga bapayoniya abawagizi oba bapayoniya aba bulijjo. (Mat. 6:22) Naawe osobola okukola bw’otyo? Bw’onoosaba Yakuwa era n’olowooza ku nkyukakyuka z’oyinza okukola, oyinza okukiraba nti “oluggi olunene olw’okukola emirimu” lukugguliddwawo. Bwe kiba bwe kityo, kozesa akakisa ako!—1 Kol. 16:8, 9.
3. Embeera yo bw’eba tekusobozesa kuweereza nga payoniya, kiki ky’oyinza okukola?
3 Ate embeera yo bw’eba tekusobozesa kuweereza nga payoniya, kiki ky’oyinza okukola? Fuba okukozesa buli kakisa k’oba ofunye okubuulira. Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli ku mulimu, buulirako bakozi banno amawulire amalungi mu kiseera ekituufu. Oba bw’oba ng’oli mulwadde, kozesa akakisa ako okubuulira abakujjanjaba. Kijjukire nti abo abali mu mbeera enzibu ennyo, gamba nga bannamukadde oba abo abalwadde ennyo, bakkirizibwa okuwaayo eddakiika 15 ku lipoota yaabwe ey’obuweereza. Bw’oba ojjuzaamu lipoota yo ey’obuweereza, teweerabira kussaako ssaawa z’oba omaze ng’obuulira embagirawo, ebitabo ne tulakiti by’oba ogabye, n’obupapula bwe tukozesa okuyita abantu ku Kijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene. Bw’onookozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira, essaawa z’owaayo buli mwezi zijja kweyongera.
4. Kiki ky’omaliridde okukola?
4 Ka tube nga tuli mu mbeera ki, tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira amawulire amalungi. Bwe tunaakola kyonna ekisoboka okuwagira Obwakabaka bwa Katonda, tujja kufuna essanyu lingi.—Mak. 14:8; Luk. 21:2-4.