LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/14 lup. 1
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 11

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 11
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA AGUSITO 11
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 8/14 lup. 1

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 11

WIIKI ETANDIKA AGUSITO 11

Oluyimba 71 n’Okusaba

Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:

cl sul. 11 ¶9-16 (Ddak. 30)

Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Bayibuli: Okubala 7-9 (Ddak. 10)

Na. 1: Okubala 9:9-23 (Ddak. 4 oba obutawera)

Na. 2: Bw’Olokolebwa Tekitegeeza nti Osigala Olokoleddwa Ebbanga Lyonna​—rs-E lup. 358 ¶4–lup. 359 ¶1 (Ddak. 5)

Na. 3: Ensi Ejja Kufuulibwa Olusuku lwa Katonda​—td 14A (Ddak. 5)

Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 107

Ddak. 5: “1914-2014: Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!” Kukubaganya birowoozo. Musome akatundu akasooka ku lupapula luno. Ebitundu ebiri mu lukuŋŋaana lw’obuweereza omwezi guno bikwata ku Bwakabaka. Bategeeze enteekateeka ez’okubuulira ezikoleddwa mu kibiina kyammwe.

Ddak. 10: “Kozesa Tulakiti Empya Ekwata ku Mukutu Gwaffe.” Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu tulakiti eyo. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agigabira omuntu, era oluvannyuma akozesa essimu ye okulagirira omuntu oyo omukutu jw.org. Bwe kiba nga tekituukirawo kukozesa tulakiti eno mu kitundu kyammwe, mukozese tulakiti, Wandyagadde Okumanya Amazima? Omubuulizi asaba nnyinimu alondeko ekimu ku bibuuzo ebiri ku tulakiti eyo era amulaga Bayibuli ky’egamba. Oluvannyuma alekawo ekibuuzo ky’anaddamu ng’azzeeyo.

Ddak. 15: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Buulira Obwakabaka n’Obuvumu.” Kukubaganya birowoozo. Saba ababuulizi babiri balage ekyokulabirako kino: Omubuulizi agenze kugula bintu ku dduuka. Omuntu omulala amuliraanye atunula ku mpapula z’amawulire era agamba nti: “Ensi eraga wa! Embeera yeeyongera kwonooneka bwonoonesi.” Omubuulizi yeewuunaganya ng’agamba nti: ‘Nnina okumubuulira ebikwata ku Bwakabaka!’ Amugamba nti: “Kituufu, embeera yeeyongera kwonooneka, naye nnandyagadde okukuwa akapapula kano. Kalaga omukutu gwa intaneeti oguliko eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo bye tutera okwebuuza.” Omubuulizi amulaga emu ku nsonga eziri ku tulakiti eyo era oyo gw’abuulira alaga nti asiimye obubaka bwaffe.

Oluyimba 92 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza