Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 21
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 21
Oluyimba 73 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 10 ¶8-17 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Eby’Abaleevi 25-27 (Ddak. 10)
Na. 1: Eby’Abaleevi 26:1-17 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abantu Bonna Balirokolebwa?—rs-E lup. 357 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Endowooza Abakristaayo Gye Balina ku Kukuza Ennaku Enkulu—td 12A (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Tussibwamu Ekitiibwa olw’Empisa Zaffe Ennungi n’olw’Obuteenyigira mu Ntalo. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2014, olupapula 120 n’olupapula 149. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 10: Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Agusito? Kwogera. Buuza ababuulizi babiri oba basatu abateekateeka okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Agusito wadde nga balwaddelwadde oba nga balina eby’okukola bingi. Nteekateeka ki gye bakoze okusobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi? Saba omulabirizi w’obuweereza ayogere enteekateeka y’ekibiina kyammwe ey’okubuulira mu Agusito.
Ddak. 10: “Yakuwa Antwala Atya?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 65 n’Okusaba