Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 14
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 14
Oluyimba 1 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 10 ¶1-7 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Eby’Abaleevi 21-24 (Ddak. 10)
Na. 1: Eby’Abaleevi 23:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Enjigiriza Egamba nti Abantu Bonna Bajja Kulokolebwa Ekontana n’Ebyawandiikibwa—rs-E lup. 356 ¶3 (Ddak. 5)
Na. 3: Peetero Lwe “Lwazi” Okwazimbibwa Ekibiina?—td 11B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Weeteekereteekere Kaweefube ow’Enjawulo ow’Omu Agusito. Bawe tulakiti empya erina omutwe ogugamba nti Wa We Tusobola Okufuna eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikulu Ennyo mu Bulamu? Laga ebyokulabirako bibiri ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4. Mu kyokulabirako ekisooka, laga engeri gye tujja okugigabamu nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu ky’okubiri, laga engeri gye tujja okugikozesaamu singa omuntu gwe tuba tusanze ayagala okumanya ebisingawo. Kubiriza bonna okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo.
Ddak. 5: Ganyulwa mu Katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ekiseera kye bassaawo okusoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku n’engeri gye baganyuddwa mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku.
Ddak. 15: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Emboozi Osobole Okubuulira Embagirawo.” Kukubaganya birowoozo. Laga ekyokulabirako kimu.
Oluyimba 107 n’Okusaba