Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 23
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 23
Oluyimba 109 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 9 ¶1-7 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Eby’Abaleevi 10-13 (Ddak. 10)
Na. 1: Eby’Abaleevi 12:1–13:8 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Kiba Kikyamu Okusinza Ebifaananyi by’Abo Abayitibwa “Abatukuvu”?—rs-E lup. 354 ¶1–lup. 355 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Yesu Yali Asobola Okuwaayo Ekinunulo—td 10B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Eby’Okugaba mu Jjulaayi. Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze, mwogere ku ebyo ebiri mu brocuwa ezinaagabibwa mu Jjulaayi. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Ddak. 20: “Engeri y’Okuyambamu Abo Abatamanyi Bulungi Kusoma.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 55 n’Okusaba