Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 28, 2014.
Kiki ekyayamba Yusufu okuziyiza ekikemo eky’okwegatta ne muka Potifaali? (Lub. 39:7-12) [Mak. 3, w13 2/15 lup. 4 kat. 6; w07 11/1 lup. 15 kat. 16]
Bwe tuba n’ebizibu kiki kye tuyinza okuyigira ku Yusufu? (Lub. 41:14, 39, 40) [Mak. 10, w04 2/1 lup. 17 kat. 6; w04-E 6/1 lup. 20 kat. 4]
Yusufu yasinziira ku ki okusonyiwa baganda be? [Mak. 17, w99-E 1/1 lup. 30 kat. 6-7]
Ab’ekika kya Benyamini baatuukiriza batya obunnabbi obuli mu Olubereberye 49:27? [Mak. 24, w12-E 1/1 lup. 29, akas.]
Ebyo ebiri mu Okuva 3:7-10 bituyigiriza ki ku Yakuwa? [Mak. 31, w09-E 3/1 lup. 15 kat. 3-6]
Emu ku ngeri Yakuwa gye yatuukanamu n’erinnya lye mu kiseera kya Musa, y’eruwa? (Kuv. 3:14, 15) [Mak. 31, w13 3/15 lup. 25-26 kat. 5-6]
Nga bwe kiragibwa mu Okuva 7:1, Musa yafuulibwa atya “Katonda eri Falaawo”? [Apu. 7, w04 4/1 lup. 9 kat. 7]
Wadde ng’Abaisiraeri baalaba engeri Yakuwa gye yabanunulamu okuva e Misiri, oluvannyuma ndowooza ki enkyamu gye baafuna era ekyo kituyigiriza ki? (Kuv. 14:30, 31) [Apu. 14, w12 3/15 lup. 26-27 kat. 8-10]
Lwaki ebigambo ‘nnabasitula n’ebiwaawaatiro by’empungu’ bituukirawo bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Abaisiraeri? (Kuv. 19:4) [Apu. 28, w96-E 6/15 lup. 10 kat. 5–lup. 11 kat. 2]
Mu ngeri ki Yakuwa gy’abonerezaamu abaana n’abazzukulu ‘olw’ebibi bya bajjajjaabwe’? (Kuv. 20:5) [Apu. 28, w04 4/1 lup. 11 kat. 1]