LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/13 lup. 4-6
  • Ebyokulabirako

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebyokulabirako
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Laba Ebirala
  • Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Brocuwa Empya gye Tunaagaba!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Okozesa Brocuwa Zino?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Emu ku Ngeri gye Tuyinza Okukozesaamu Brocuwa Eyitibwa Bible’s Message
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 12/13 lup. 4-6

Ebyokulabirako

◼ Australia: John yagendanga mu kkanisa ng’akyali muto, kyokka oluvannyuma yatandika obutakkiririza mu Katonda. Payoniya yamulekera brocuwa erina omutwe ogugamba nti Was Life Created? era bwe yaddamu okumukyalira n’amuwa brocuwa, Origin of Life. Payoniya yeeyongera okumuyamba okusiima obubaka bwaffe ng’amutwalira magazini empya era ng’amulaga ebitundu ebikwata ku kutondebwa ne ku bunnabbi bwa Bayibuli ebiri mu magazini ezo. Bwe yalaba nga kyetaagisa, yamuwa akatabo The Bible​—God’s Word or Man’s? John bwe yamala okusoma akatabo ako, endowooza ye yagenda ekyuka mpolampola. Oluvannyuma payoniya yamutwalira akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, n’amulaga akatundu 8 akali ku lupapula 20 n’akatundu 13-16 obuli ku lupapula 23-24. Ebyawandiikibwa ebiri mu butundu obwo byakwata nnyo ku John n’atuuka n’okugamba nti, “Kirabika nneetaaga okwekenneenya obulungi ebiri mu Bayibuli.”

◼ Mexico: Omusajja omu yagamba ow’oluganda nti takkiriza nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Ow’oluganda yamusaba amulage obukakafu obulaga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo enfunda n’enfunda, endowooza y’omusajja oyo yatandika okukyuka olw’ebyo bye yali ayiga mu Bayibuli. Yakwatibwako nnyo nnaddala bwe yayiga emitindo gya Katonda. Yagamba ow’oluganda nti: “Mu kusooka bwe twabanga tusoma naawe Bayibuli, amagezi agagirimu gaalinga amagezi agali mu bitabo ebirala ebya bulijjo era saagatwalanga ng’ekikulu. Naye kati bwe tusoma Bayibuli nkwatibwako nnyo, nnaddala olw’okubuulirira okulimu okukwata ku mpisa.”

◼ Amerika: Ow’oluganda ne mukyala we bwe baali mu kubuulira okw’enjawulo mu bifo ebya lukale, baayogera n’omukazi eyali ava mu Taiwan eyali akkiririza mu Katonda naye ng’akitwala nti Bayibuli kitabo ky’abantu b’e bulaaya. Ekyamutwala we baali bagabira ebitabo kwe kuba nti yali awulira nti obulamu bwe tebulina kigendererwa wadde nga yali mugagga. Yali asuubira nti Bayibuli eyinza okumuyamba okutegeera ekigendererwa ky’obulamu. Ow’oluganda ne mukyala we baatandika okumuyigiriza Bayibuli nga bakozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ne brocuwa erina omutwe Lasting Peace and Happiness​—How to Find Them. Mu kifo ky’okusoma essuula ey’okubiri ey’akatabo, baakubaganya birowoozo ku kitundu ekiri mu brocuwa ekirina omutwe, “Ekitabo Ekiyamba Abantu Bonna.” Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku butundu omukaaga obusooka, omukazi yeewuunya nnyo era n’agamba nti Bayibuli ya njawulo nnyo ku bitabo ebirala eby’eddiini. Nga bamaze okwekenneenya obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirizibwa, yagamba nti, “Tewali kitabo kirala kituufu nga Bayibuli!”

◼ Japan: Wadde ng’omusajja yali agambye ow’oluganda nti yali takkiririza mu Katonda, ow’oluganda yeeyongera okumukyalira n’akubaganya naye ebirowoozo ku bitundu ebifulumira mu Awake! ebirina omutwe “Kyatondebwa?” Endowooza y’omusajja oyo yatandika okukyuka mpolampola, era yagamba nti kirabika waliyo Omutonzi. Kati akkiriza nti Katonda gyali era ow’oluganda amuyigiriza ng’akozesa akatabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!

◼ Canada: Omukazi omu bwe yali ava mu nnyumba ye ng’agenda mu mmotoka ye, mwannyinaffe yamuwa magazini empya. Mwannyinaffe bwe yaddamu okumukyalira, omukazi yamugamba nti yali tayagala kuwulira bikwata ku Bayibuli era nti yali takkiririza mu Katonda. Mwannyinaffe teyalekulira, wabula yasalawo okumutwalira brocuwa erina omutwe ogugamba nti, A Satisfying Life​—How to Attain It. Mwannyinaffe bwe yamusangawo awaka yagamba omukazi oyo nti, wadde nga yali akimanyi nti takkiririza mu Katonda, yali amuleetedde akatabo akandimuyambye kubanga yakiraba nti muzadde ali obwannamunigina. Yalaga omukazi akatundu 6 akali ku lupapula 4 mu brocuwa eyo, akalaga wa w’asobola okusanga amagezi amalungi. Oluvannyuma yamukubiriza okusoma essomo 2 erikwata ku kukuza abaana. Omukazi yasanyuka nnyo era n’atwala brocuwa eyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza