Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 2
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 2
Oluyimba 123 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl Essomo 14-16 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Peetero 1–2 Peetero 3 (Ddak. 10)
Na. 1: 1 Peetero 2:18–3:7 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Eddiini ey’Amazima by’Eyigiriza Byesigamiziddwa ku Bayibuli era Emanyisa Erinnya lya Katonda—rs-E lup. 328 ¶4-5 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Tuli Bakakafu nti Yesu Ye Masiya—Luk. 24:44; Bag. 4:4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Tandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Kwogera. Kubiriza bonna okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Ddesemba. Mu bufunze, laga ekyokulabirako ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu ng’okozesa ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna.
Ddak. 15: Ogezezzaako Okukozesa Amagezi Gano? Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze, yogera ku bitundu bino ebyafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka gye buvuddeko: “Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gutuganyula era Guganyula n’Abalala” (km 12/12), “Kozesa Vidiyo ng’Oyigiriza,” ne “Ekitundu Kino Kiyinza Kusikiriza Baani?” (km 5/13). Saba abawuliriza boogere engeri gye baganyuddwa mu kukozesa amagezi agaaweebwa mu bitundu ebyo.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Oluyimba 12 n’Okusaba