Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 18
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 18
Oluyimba 20 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl Essomo 8-10 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abebbulaniya 9-13 (Ddak. 10)
Na. 1: Abebbulaniya 10:19-39 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Bw’Omanya nti Olina Enkolagana Ennungi ne Katonda Kiba Kimala?—rs-E lup. 327 ¶5–lup. 328 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Engeri Gye Tusobola Okubudaabudamu Abalala—Bar. 15:4; 2 Kol. 1:3, 4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kukubaganya birowoozo.
Ddak. 10: “Tukukyaliddeko olw’Okuba . . .” Kukubaganya birowoozo. Babuulire ebitabo ebinaagabibwa mu Ddesemba era olage ekyokulabirako kimu oba bibiri ng’okozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 10: Yakuwa Awulira Okusaba kw’Abaweereza Be. (1 Yok. 3:22) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook, aka 2013, olupapula 91, akatundu 2-3, n’olupapula 108-109. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Oluyimba 56 n’Okusaba