Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 14
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 14
Oluyimba 31 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 14, ekibuuzo 3, 4 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abafiripi 1–Abakkolosaayi 4 (Ddak. 10)
Na. 1: Abafiripi 3:17–4:9 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Kiba Kituufu Omuntu Okuva mu Ddiini y’Abazadde Be?—rs-E lup. 324 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Okusaba Kutuyamba Kutya Okuziyiza Ebikemo?—Luk. 11:9-13; Yak. 1:5 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Obumu Baffe mu Nsi Yonna Buweesa Yakuwa Ekitiibwa. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 165, akatundu 2, okutuuka ku mutwe omutono oguli ku lupapula 168. Saba abamu ku bawuliriza boogere ebyokulabirako bye baasoma mu bitabo byaffe ebiraga engeri obumu n’okwagala Abajulirwa ba Yakuwa bye balina gye byawaamu obujulirwa.
Ddak. 15: “Tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 ya kugabibwa mu Ddesemba!” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Buli omu muwe tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38. Saba omulabirizi w’obuweereza ayogere enteekateeka ekoleddwa okusobola okumalako ekitundu kye mubuuliramu. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4, mu bufunze laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okugabamu tulakiti eyo.
Oluyimba 53 n’Okusaba