Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 16
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 16
Oluyimba 48 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 12, ekibuuzo 1-3 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Abakkolinso 1-7 (Ddak. 10)
Na. 1: 2 Abakkolinso 1:15–2:11 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Njawulo Ki Eriwo Wakati w’Enjigiriza y’Okubbulukukira mu Bulamu Obulala n’Enjigiriza ya Bayibuli ey’Okuzuukira?—rs-E lup. 320 ¶3-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Kiki Omuntu ky’Alina Okukola Okusobola Okufuula Erinnya lya Yakuwa Ekiddukiro Kye?—Zef. 3:12, NW (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?—Ekitundu 2. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku tulakiti Obulamu Bwammwe akatundu 10 okutuuka ku nkomerero. Mu bufunze, buuza ebibuuzo omubuulizi eyayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna ng’akyali muvubuka. Kiki ekyamukubiriza okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Mikisa ki gy’afunye?
Ddak. 10: Bw’Oba Obuulidde Wekka. Kukubaganya birowoozo. (1) Bwe tuba tubuulidde ffekka, kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu? (2) Lwaki tusaanidde okuba abeegendereza nga tugenze okuddiŋŋana ffekka? (3) Bwe kiba nti ennaku z’ogenderako okubuulira tewabaawo lukuŋŋaana lwa kugenda kubuulira, oyinza otya okufuna ow’okubuulira naye? (4) Lwaki ebiseera ebimu kiba kirungi okubuulira ffekka bwe kiba nga kisoboka?
Ddak. 10: “Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze, yogera ku ngeri brocuwa eyo gye yategekebwamu n’ebyo ebigirimu.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2013, olupapula 3.
Oluyimba 107 n’Okusaba