Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 19
WIIKI ETANDIKA Agusito 19
Oluyimba 27 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 10, ekibuuzo 1, 2 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abaruumi 9-12 (Ddak. 10)
Na. 1: Abaruumi 9:19-33 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Omuntu bw’Akubuuza nti, ‘Okkiriza nti Abakkiriza Bajja Kukwakkulibwa Batwalibwe mu Ggulu?’—rs-E lup. 316 ¶9–lup. 317 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Tetusaanidde Kutya Bantu—Luk. 12:4-12 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: “Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Babuulire ennaku z’omwezi ez’olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu bwe muba muzimanyi.
Ddak. 10: Engeri y’Okuddamu Abo Abataagala Bubaka Bwaffe. Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Menya ebintu bibiri oba bisatu abantu mu kitundu kye mubuuliramu bye batera okwogera nga baagala okubaziyiza okwogera nabo naye nga tebyogerwako mu katabo Reasoning. Saba abawuliriza boogere engeri gye muyinza okubaddamu. Laga ekyokulabirako kimu mu bufunze.
Ddak. 10: Buulira n’Obuvumu. (Bik. 4:29) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2013, olupapula 49, akatundu 1-6; n’olupapula 69, akatundu 1-6. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Oluyimba 92 n’Okusaba