Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 12
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 12
Oluyimba 88 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 9, ekibuuzo 4, 5 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abaruumi 5-8 (Ddak. 10)
Na. 1: Abaruumi 6:21–7:12 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Abakristaayo Abamu Batwalibwa mu Ggulu Okubeera ne Kristo?—rs-E lup. 316 ¶5-8 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki kya Kabi Okukulembeza eby’Obugagga mu Kifo ky’Okukulembeza Obwakabaka—Mat. 6:33; 1 Tim. 6:10 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: “Ekigambo kya Katonda Kigasa mu Kuyigiriza.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Babuulire ennaku z’omwezi ez’olukuŋŋaana lw’ekitundu bwe muba muzimanyi.
Ddak. 10: Lowooza ku ky’Oba Ogenda Okwogerako mu Buweereza. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 167, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 168, akatundu 1. Ng’okozesa emu ku brocuwa ezigabibwa omwezi guno, laga eky’okulabirako ng’omubuulizi akozesa eddakiika ntonotono okwewuunaganya ku ebyo by’anaayogera mu nnyanjula ye.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Ebikolwa 8:26-31. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Oluyimba 61 n’Okusaba