Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 22
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 22
Oluyimba 35 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 8, ekibuuzo 1-3 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ebikolwa 22-25 (Ddak. 10)
Na. 1: Ebikolwa 22:17-30 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ngeri Ki ez’Enjawulo Mwe Tusobola Okukiragira nti Tetuli ba Nsi Wadde Tuli mu Nsi?—Yok. 17:15, 16 (Ddak. 5)
Na. 3: Abakristaayo Abenda mu Ggulu Bagendayo n’Emibiri Gyabwe?—rs-E lup. 314 ¶1-2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Laga nti Oyo gw’Obuulira Omuwa Ekitiibwa. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 190, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 192, akatundu 1. Laga ekyokulabirako ekituukirawo ekiraga nti omubuulizi tawadde kitiibwa oyo gw’abuulira. Oluvannyuma ddamu ekyokulabirako ekyo naye nga ku mulundi guno omubuulizi alaga nti oyo gw’abuulira amuwa ekitiibwa.
Ddak. 20: “Enkola Empya ez’Okubuulira mu Lujjudde.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bategeeze enteeka z’ekibiina kyammwe ez’okubuulira mu lujjudde nga mukozesa emmeeza oba obugaali okuteekebwa ebitabo, era oyogere ne ku birungi ebivuddemu.
Oluyimba 95 n’Okusaba