Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 15
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 15
Oluyimba 30 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 7 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ebikolwa 18-21 (Ddak. 10)
Na. 1: Ebikolwa 20:17-38 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abantu Balirabira Ddala Kristo ng’Ajja mu Bire era ng’Atwala Abakristaayo Abeesigwa mu Ggulu?—rs-E lup 313 ¶1-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Tukiraga Tutya nti Tulowooza bya Mwoyo?—Bar. 8:6 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Fuba Okutuuka ku Mutima gw’Omuyizi Wo. (Luk. 24:32) Kukubaganya birowoozo ku bibuuzo bino: (1) Bwe tuba tuyigiriza omuyizi, lwaki kikulu okuggumiza (a) okwagala kwa Yakuwa n’amagezi ge? (b) obukulu bw’okukolera ku misingi gya Bayibuli? (c) obukulu bw’okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tetunnabaako kye tusalawo? (2) Okubuuza omuyizi wo ebibuuzo bino wammanga kiyinza kitya okukuyamba okumanya obanga by’omuyigiriza bimutuuka ku mutima? (a) Naawe kino okikkiriza? (b) Olowooza kyoleka okwagala kwa Katonda? (c) Miganyulo ki egiri mu kukolera ku kubuulirira kuno?
Ddak. 20: “Ab’oluganda Abavubuka, Muluubirira Enkizo mu Kibiina?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mu bufunze buuza ebibuuzo omukadde oba omuweereza eyaluubirira enkizo mu kibiina ng’akyali muvubuka. Mirimu ki egyamuweebwa era kutendekebwa ki kwe yafuna nga tannalondebwa kuba muweereza mu kibiina? Abalala mu kibiina baamuyamba batya okukulaakulana mu by’omwoyo? Mikisa ki gy’afunye olw’okuluubirira enkizo mu kibiina?
Oluyimba 85 n’Okusaba