Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 8
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 8
Oluyimba 111 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 6 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ebikolwa 15-17 (Ddak. 10)
Na. 1: Ebikolwa 16:16-34 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Omukristaayo Asobola Okuba Omusanyufu ng’Ayigganyizibwa?—Mat. 5:11, 12 (Ddak. 5)
Na. 3: Omutume Pawulo Yali Ayogera ku Nsonga Ki Bwe Yagamba nti Abakristaayo Bajja “Kukwakkulibwa” Bagende Babeere ne Mukama Waffe?—rs-E lup. 312 ¶1-2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi—Okuyamba Abayizi Okwegatta ku Kibiina kya Yakuwa. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 99, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 100, akatundu 1. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye bakozesezzaamu brocuwa, Abakola Yakuwa by’Ayagala okuyamba abayizi baabwe okwegatta ku kibiina kya Yakuwa.
Ddak. 10: Gezesa Yakuwa, Akuwe Emikisa Gibule ne We Gigya (Mal. 3:10) Buuza bapayoniya babiri oba basatu ebibuuzo bino: Kiki ekisinga okukuleetera essanyu mu kuweereza nga payoniya? Okuweereza nga payoniya kikuyambye kitya mu by’omwoyo? Basabe boogere ku birungi ebivudde mu buweereza bwabwe. Fundikira ng’okubiriza ababuulizi okulowooza ku ky’okutandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu Ssebutemba.
Ddak. 10: “Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Yoweeri.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 54 n’Okusaba