Enteekateeka Eneetusobozesa Okweyongera Okutendereza Yakuwa
1. Nteekateeka ki empya eneetusobozesa ‘okutendereza ennyo Yakuwa’?
1 Waliwo enteekateeka empya eyatandikibwawo ey’okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki, Apuli, ne mu mwezi omulabirizi w’ekitundu lw’aba akyalidde ekibiina, era nga tuba tusobola okuwaayo essaawa 30. Okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu bwe kuba kuyingirako mu mwezi omulala, ababuulizi bayinza okulondako ogumu ku myezi egyo ne baweereza nga bapayoniya abawagizi era ne bawaayo essaawa 30. Bapayoniya bonna abawagizi bayinza okubaawo mu lukuŋŋaana lwonna omulabirizi w’ekitundu lw’aba nalwo ne bapayoniya aba bulijjo awamu ne bapayoniya ab’enjawulo. N’olwekyo, bwe tuba tetusobola kuweza ssaawa 50, tusobola ‘okutendereza ennyo Yakuwa’ nga tuweereza nga bapayoniya abawagizi emyezi ena buli mwaka nga tuwaayo essaawa 30.—Zab. 109:30; 119:171.
2. Abo abanaaweerezanga nga bapayoniya abawagizi mu mwezi omulabirizi w’ekitundu lw’anaakyalira ekibiina kyabwe banaaganyulwa batya?
2 Mu Mwezi Omulabirizi w’Ekitundu lw’Anaakyala: Kati ababuulizi bangi basobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi omulabirizi w’ekitundu lw’anaakyalira ekibiina kyabwe, ekinaabasobozesa okubuulirako naye n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Bapayoniya abawagizi basobola okufunayo olunaku lumu mu wiiki basobole okubuulirako n’omulabirizi. Ate bo abalina omulimu gw’ekiseera kyonna basobola okusaba omulabirizi w’ekitundu babuulireko naye ku Lwomukaaga oba ku Ssande. Okugatta ku ekyo, bapayoniya abawagizi bajja kuzzibwangamu nnyo amaanyi mu lukuŋŋaana omulabirizi lw’aba nalwo ne bapayoniya aba bulijjo awamu ne bapayoniya ab’enjawulo.
3. Lwaki kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo?
3 Mu Maaki ne Apuli: Abo abaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu kiseera ky’Ekijjukizo ne bawaayo essaawa 30, kati basobola okwongera ku “ssaddaaka [zaabwe] ez’okutendereza”! (Beb. 13:15) Kirungi nnyo okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki ne Apuli. Buli mwaka, mu myezi egyo tuba ne kaweefube ow’okuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo. Okugatta ku ekyo, tuba tusobola okubuulirako n’ababuulizi abawerako okuva bwe kiri nti bangi baba baweereza nga bapayoniya abawagizi. Oluvannyuma lw’Ekijjukizo, tukyalira abo ababa bazze ku mukolo gw’Ekijjukizo ne tubakubiriza okubaawo ne ku kwogera okw’enjawulo. Bino byonna tebyandikukubirizza okuweereza nga payoniya omuwagizi?—Luk. 6:45.