Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 27
WIIKI ETANDIKA MAAYI 27
Oluyimba 134 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 48 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yokaana 12-16 (Ddak. 10)
Na. 1: Yokaana 12:20-36 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Baani Abaasooka Okuganyulwa mu Ssaddaaka ya Yesu, era Lwaki?—rs-E lup. 308 ¶2-3 (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Kituukirawo Yakuwa Okuyitibwa “Katonda Awa Emirembe”?—Bar. 15:33 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Tandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Kwogera. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okutandikamu okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Jjuuni, ng’okozesa ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi. Kubiriza bonna okujjumbira enteekateeka eno.
Ddak. 15: Okufukirira Ensigo Ze Tusiga. (1 Kol. 3:6-9) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku bibuuzo bino: (1) Miganyulo ki gy’ofuna bw’okola okuddiŋŋana? (2) Lwaki abamu kibazibuwalira okukola okuddiŋŋana? (3) Biki ebiyinza okubayamba? (4) Okudiŋŋana bwe kuba kutuzibuwalira, kiki kye tusaanidde okukola okufuna obuyambi? (5) Kiki ky’okola okusobola okujjukira omuntu eyasiima obubaka bwaffe, ensonga gye mwayogerako, ekitabo kye wamulekera, n’ebirala ebimukwatako? (6) Weeteekerateekera otya okuddiŋŋana? (7) Lwaki kirungi okufuna akadde buli wiiki okukola okuddiŋŋana?
Ddak. 10: “Kozesa Vidiyo ng’Oyigiriza.” Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baaganyulwa mu kulaba vidiyo zaffe nga tebannafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Bwe kiba nti vidiyo temuzirina, nnyonnyola ababuulizi engeri gye tuyinza okukozesaamu ebifaananyi ebiri mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza ne mu katabo “Kwagala kwa Katonda” okusobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli okutegeera obulungi by’ayiga.
Oluyimba 101 n’Okusaba