Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 29
WIIKI ETANDIKA APULI 29
Oluyimba 91 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 44 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Lukka 22-24 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Tandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 8, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Maayi. Kozesa magazini ze mwasembayo okufuna era kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula za magazini ezo. Kubiriza bonna okujjumbira enteekateeka eno. Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe, “Otera Okutunulako Awatimbibwa Amabaluwa?”
Ddak. 10: Obubaka Bwe Tulina Okubuulira—“Enjiri Eno ey’Obwakabaka.” Kwogera okw’ebbugumu nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 279-281.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Matayo 16:21-23 ne Lukka 9:22-26. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Oluyimba 117 n’Okusaba