Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 8
WIIKI ETANDIKA APULI 8
Oluyimba 41 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 41 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Lukka 10-12 (Ddak. 10)
Na. 1: Lukka 12:1-21 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Abantu Baawukana mu Langi?—rs-E lup. 302 ¶2–lup. 303 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Yakuwa Tumuyita Kitaffe—Mat. 6:9 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Osobola Okubazzaamu Amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera omuwendo gwa bapayoniya aba bulijjo abali mu kibiina kyammwe. Yogera ku ngeri gye muyinza okubazzaamu amaanyi, gamba ng’okubasiima, okubuulirako nabo, okubayambako mu by’entambula, oba okubakyaza ne muliirako wamu nabo. Saba bapayoniya boogere engeri abalala gye babazizzaamu amaanyi. Bwe muba temulina bapayoniya aba bulijjo, kozesa ekitundu kino ku bapayoniya abawagizi.
Dak. 10: Okuddamu Ebibuuzo Ebikwata ku Nnaku ez’Oluvannyuma. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 241, akatundu 5, okutuuka ku lupapula 243, akatundu 1. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu ng’okozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu ekyo.
Dak. 10 “Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Yona.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 13 n’Okusaba