Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Maaki ne Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, musobola okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Musobola n’okubawa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Maayi ne Jjuuni: Mugabe emu ku tulakiti zino wammanga: Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?, Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?, Olina Omwoyo Ogutafa?, Yakuwa y’Ani?, Ensi Eno Eneewonawo?, Obulamu mu Nsi Empya ey’Emirembe, ne Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma! Bwe basiima obubaka bwaffe, mubalage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, oba brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna.
◼ Omukolo gw’Ekijjukizo gujja kubaawo ku Lwokubiri, Maaki 26, 2013. Ekibiina kyammwe bwe kiba n’enkuŋŋaana ku Lwokubiri, zirina okukyusibwa ziteekebwe ku lunaku olulala olwa wiiki singa tewabaawo kibiina kirala kigenda kukozesa Kizimbe kya Bwakabaka. Kino bwe kiba tekisoboka, omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde ayinza okukyusa ebitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza naddala ebyo ebisinga okukwata ku kibiina kyammwe, ne muba nabyo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olulala. Ekibiina ekinaaba kikyazizza omulabirizi w’ekitundu kisaanidde okukyusa enkuŋŋaana ezitera okubaawo ku Lwokubiri, ziteekebwe ku lunaku olulala mu wiiki eyo.