Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 25
WIIKI ETANDIKA MAAKI 25
Oluyimba 18 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 39 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Lukka 4-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Lukka 4:22-39 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Kyava ku Ki Abantu Okuba Nga Baawukana mu Langi?—rs-E lup. 301 ¶1-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Bukakafu Ki Obulaga nti Yesu Yazuukizibwa?—1 Kol. 15:3-7 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Tandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 8, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Apuli. Kubiriza bonna okujjumbira enteekateeka eyo.
Ddak. 25: “Engeri y’Okukozesaamu Brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 6, laga ebyokulabirako bibiri.
Oluyimba 97 n’Okusaba