Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 11
WIIKI ETANDIKA MAAKI 11
Oluyimba 2 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 37 (Ddak. 30)
□Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Makko 13-16 (Ddak. 10)
Na. 1: Makko 14:22-42 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Kikulu Okujjukira Okufa kwa Yesu?—rs-E lup. 266 ¶1–lup. 267 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Omugaati n’Envinnyo Ebikozesebwa ku Kijjukizo Bikiikirira Ki?—rs-E lup. 267 ¶2-3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Matayo 10:7-10 ne Lukka 10:1-4. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ebyawandiikibwa ebyo gye bisobola okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 10: Engeri gy’Oyinza Okugaziya ku Buweereza Bwo—Ekitundu 1. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 111, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 112, akatundu 2. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu oba babiri abaagendako mu kitundu ekirala oba abaayiga olulimu olulala basobole okugaziya ku buweereza bwabwe. Kusoomoozebwa ki kwe baayolekana nakwo, era baakuvvuunuka batya? Ab’omu maka gaabwe oba ab’oluganda mu kibiina baabayamba batya? Mikisa ki gye bafunye?
Ddak. 10: “Weeteekereteekere Omukolo gw’Ekijjukizo n’Omutima Ogujaguza.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bategeeze enteekateeka z’ekibiina kyammwe ezikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo. Bategeeze we mutuuse mu kaweefube ow’okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo.
Oluyimba 8 n’Okusaba