Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 18
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 18
Oluyimba 12 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 34 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Makko 1-4 (Ddak. 10)
Na. 1: Makko 2:18–3:6 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Enjigiriza ya Puligaatooli Yeesigamiziddwa ku Ki?—rs-E lup. 299 ¶1-6 (Ddak. 5)
Na. 3: Makulu Ki Agali mu Bigambo bya Pawulo Ebiri mu 1 Abakkolinso 7:29-31? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Buulira Ekigambo mu Biseera Ebizibu. (2 Tim. 4:2) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook, aka 2012, olupapula 72, akatundu 1-2; olupapula 110; olupapula 156, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 157, akatundu 1; n’olupapula 179, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 15: “Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 1.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku kijjukizo, era mukubaganye ebirowoozo ku bikalimu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, saba omulabirizi w’obuweereza ayogere enteekateeka ezikoleddwa ez’okugaba obupapula obwo mu kitundu kye mubuuliramu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okubugabamu.
Oluyimba 8 n’Okusaba