Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 11
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 11
Oluyimba 109 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 33 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Matayo 26-28 (Ddak. 10)
Na. 1: Matayo 27:24-44 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Obugumiikiriza bwa Katonda Butuviiramu Butya Obulokozi?—2 Peet. 3:9, 15 (Ddak. 5)
Na. 3: Omuntu bw’Akugamba nti, ‘Essira Mulissa Nnyo ku Bunnabbi’—rs-E lup. 298 ¶1-2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Matayo 6:19-21 ne Lukka 16:13. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 20: “Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi?” Kitundu kya kubuuza bibuuzo na kuddamu nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, mu bufunze, buuza ebibuuzo ababuulizi babiri abateekateeka okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki, omu ku bo akola ekiseera kyonna, ate omulala alina obulwadde obwandimulemesezza. Nkyukakyuka ki ze bateekateeka okukola okusobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi? Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga ekyokulabirako ng’abafumbo oba ng’amaka omuli abaana, bakola enteekateeka mu kiseera ky’Okusinza kw’Amaka okuweereza nga bapayoniya abawagizi.
Oluyimba 122 n’Okusaba