Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 16
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 16
Oluyimba 15 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 3 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 15-17 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezeekyeri 16:14-27 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Mazima Ki Yesu ge Yali Ayogerako mu Yokaana 18:37? (Ddak. 5)
Na. 3: Yesu ye Yatandikawo Okusaba Mmisa?—rs-E lup. 264 ¶1–lup. 265 ¶5 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Kozesa by’Oyiga mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda Okukulaakulana ng’Omubuulizi. Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 6, katundu 1, okutuuka ku nkomerero y’olupapula 8. Saba omubuulizi omu oba babiri boogere engeri Essomero ly’Omulimu gwa Katonda gye libayambyemu mu buweereza.
Ddak. 20: “Yamba Abantu Okuwuliriza Katonda.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 5, laga ekyokulabirako ng’omubuulizi alaga engeri gye tuyinza okugabamu emu ku brocuwa ezo. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku katundu 6, laga ekyokulabirako kya ddakiika ssatu ng’omubuulizi ayigiriza omuntu Bayibuli ng’akozesa brocuwa Wuliriza Katonda era nga bakubaganya ebirowoozo ku kifaananyi ekisooka ku lupapula 4.
Oluyimba 120 n’Okusaba