Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 9
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 9
Oluyimba 114 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 2 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 11-14 (Ddak. 10)
Na. 1: Ezeekyeri 11:14-25 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Bye Tusoma mu Yokaana 6:53-57 Birina Makulu Ki?—rs-E lup. 263 ¶3-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Obuwombeefu Kye Ki, era Butuyamba Butya?—Zef. 2:3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Longoosa mu Ngeri gy’Oddiŋŋanamu Abantu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku bibuuzo bino wammanga: (1) Lwaki kirungi okuba n’ekiruubirirwa buli lwe tuba tuddayo eri oyo eyalaga okusiima? (2) Ku mirundi gye tuba tusoose okuddayo eri oyo eyalaga okusiima twandimazeeyo bbanga ki? (3) Tuyinza kweyanjula tutya nga tuzzeeyo? (4) Kiki kye tuyinza okwogera singa omuntu agamba nti tayagala kuyiga? (5) Bwe tuba tuzzeeyo eri oyo eyakkiriza tulakiti, brocuwa, oba magazini, ddi lwe tusaanidde okumwanjulira akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, era tuyinza kukikola tutya? (6) Tuyinza tutya okuyamba omuntu okwongera okusiima obubaka bwaffe bwe kiba nti tetutera kumusanga waka? (7) Tuyinza tutya okutendeka ababuulizi abalina obumanyirivu obutono bwe tuba tuddiŋŋana abantu?
Ddak. 15: “Kiki ‘ky’Osinziirako Okwenyumiriza’?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, kubiriza bonna okuwangayo lipoota zaabwe ez’obuweereza buli mwezi. Yogera ku nsonga ezituukirawo eziri mu katabo Organized, olupapula 88-90.
Oluyimba 9 n’Okusaba