Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa emu ku magazini zaffe enkadde oba brocuwa yonna etuukagana n’embeera. Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula 32. A Book for All People, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happpiness—How to Find them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, The Divine Name That Will Endure Forever, ne Was Life Created? Bwe muba muzzeeyo eri abo abaalaga okusiima, mubanjulire akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba okusinziira ku bwetaavu bwa buli muntu musobola okubanjulira emu ku brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli.
◼ Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olunaaba e Kajjansi (Kampala) lujja kubaawo nga Agusito 10-12, 2012, ate lwo olw’e Seeta lwa kubaawo nga Agusito 17-19, 2012.