Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 2
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 2
Oluyimba 118 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 11 ¶1-5 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Isaaya 24-28 (Ddak. 10)
Na. 1: Isaaya 27:1-13 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Tobanga na Kubuusabuusa Kwonna nti Katonda Akwagala—Is. 57:15 (Ddak. 5)
Na. 3: Obulamu Bulina Kigendererwa Ki?—rs-E lup. 243 ¶3–lup. 244 ¶4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Ng’okozesa ennyanjula eya Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna gwe musembyeyo okufuna mu kibiina kyammwe, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandikamu okuyigiriza omuntu ku Lwomukaaga olusooka mu Jjanwali. Kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula ya Omunaala ogwo.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 15: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Jjanwali. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebimu ku bitundu ebiri mu magazini ezaakafuluma ebiyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, saba abawuliriza boogere ebibuuzo ebiyinza okusikiriza abantu n’ebyawandiikibwa bye muyinza okusoma. Kola kye kimu ne ku bitundu ebisooka ebiri mu Awake! ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, era obudde bwe bubaawo, kola kye kimu ne ku kitundu ekirala kimu ekiri mu emu ku magazini ezo. Musaanidde okukola kaweefube ow’enjawulo ow’okugaba Awake! ya Jjanwali mu bitundu omukolerwa bizineesi. Saba omulabirizi w’obuweereza ayogere ku nteekateeka ezikoleddwa ez’okwenyigira mu kaweefube ono. Laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo. Mu kyokulabirako ekikwata ku Awake! laga engeri gy’eyinza okugabibwamu mu bitundu omukolerwa bizineesi.
Oluyimba 86 n’Okusaba