Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 14
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 14
Oluyimba 49 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 9 ¶13-17, akas. ku lup. 112 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Omubuulizi 1-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Omubuulizi 6:1-12 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Okweyongera kw’Obumenyi bw’Amateeka Kulaga Ki?—rs-E lup. 237 ¶1-2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Bakolera ku Kubuulirira Okuli mu Abaruumi 12:19 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Ofuna Essanyu Eriva mu Kugaba? Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 15, 2011, olupapula 22-23.
Ddak. 15: “Ensigo Zirina Okufukirirwa Okusobola Okukula.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga mumaze okukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, laga ekyokulabirako ekirimu okwewuunaganya ng’omubuulizi ateekateeka okuddira omuntu eyalaga okusiima. Ayitaayita mu ebyo bye yawandiika ebikwata ku muntu oyo era alowooza ku ngeri y’okuddamu ekibuuzo kye yalekawo lwe yasembayo okumukyalira n’engeri y’okutandikamu okumuyigiriza Bayibuli ng’akozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Mu bufunze, yogera ku ebyo ebiri mu katabo Organized ku lupapula 85, akatundu 3, ebikwata ku kuddiŋŋana.
Oluyimba 98 n’Okusaba