LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 3/11 lup. 3
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 28

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 28
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA MAAKI 28
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 3/11 lup. 3

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 28

WIIKI ETANDIKA MAAKI 28

Oluyimba 45 n’Okusaba

□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:

fy sul. 1 ¶18-23, akas. ku lup. 12 (Ddak. 25)

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Bayibuli: Yobu 11-15 (Ddak. 10)

Na. 1: Yobu 13:1-28 (Ddak. 4 oba obutawera)

Na. 2: Ensonga Lwaki Yesu Ye “Mukama wa Ssabbiiti”​—Mat. 12:8 (Ddak. 5)

Na. 3: Yesu Yali Abeera mu Ggulu nga Tannafuuka Muntu?​—rs-E lup. 216 ¶4–lup. 217 ¶1 (Ddak. 5)

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 2

Ddak. 5: Ebirango. Bategeeze ebitabo ebinaagabibwa mu Apuli, era olage ekyokulabirako ku ngeri y’okutandikamu okuyigiriza omuntu Bayibuli ng’ozzeeyo okukyalira oyo eyatwala magazini zaffe.

Ddak. 10: Okuwagira Omulimu gw’Obwakabaka mu Kitundu Kyaffe ne mu Nsi Yonna. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 127 okutuuka ku lupapula 129, akatundu 2.

Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Apuli. Kukubaganya birowoozo. Mu ddakiika emu oba bbiri nokolayo ebiri mu lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini. Oluvannyuma londa ebitundu bibiri oba bisatu, era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bazigaba. Laga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.

Ddak. 10: “Wali Oweerezzaako nga Payoniya owa Bulijjo?” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe wabaawo payoniya eyali alekedde awo okuweereza nga payoniya naye nga kati yaddamu okukola nga payoniya oluvannyuma lw’embeera ezaali zimulemesa okukyukamu, oyinza okumubuuza ebibuuzo bino: Kiki ekyamusobozesa okuddamu okuweereza nga payoniya? Mikisa ki gy’afunye?

Oluyimba 6 n’Okusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza