Omulimu Ogusinga Okuleeta Essanyu
1. Mulimu ki ogw’okuwonya abantu mu by’omwoyo ogukolebwa mu kiseera kyaffe?
1 Abantu baafuna essanyu lya nsusso bwe baalaba abo abaawonyezebwa endwadde zaabwe mu kyasa ekyasooka. (Luk. 5:24-26) Mu kiseera kyaffe, tufuna essanyu nga tukola omulimu oguwonya abantu mu by’omwoyo. (Kub. 22:1, 2, 17) Nga kitubuguumiriza nnyo bwe tusoma ku byokulabirako ebiraga engeri Ekigambo kya Yakuwa n’omwoyo gwe omutukuvu gye bikyusizzaamu obulamu bw’abantu! Kyokka, ekisinga okutuleetera essanyu, kwe kwenyigira mu mulimu guno nga tuyigiriza abayizi ba Bayibuli abakulaakulana.
2. Kiki ekituleetera essanyu nga tuyigiriza omuntu amazima?
2 Erinnya lya Katonda lye liruwa? Lwaki aleseewo okubonaabona? Kiki Obwakabaka bwa Katonda kye bunaakolera abantu? Tuba basanyufu bwe tuddamu ebibuuzo ng’ebyo era bwe tulaba essanyu omuyizi ly’aba nalyo ng’ayize amazima. (Nge. 15:23; Luk. 24:32) Omuyizi bw’agenda akulaakulana, ayinza okutandika okukozesa erinnya lya Yakuwa, okukyusa ennyambala ye n’okwekolako, okwekutula ku mize emibi, n’okutandika okubuulirako abalala ku ebyo by’ayiga. Bw’akulaakulana n’atuuka okwewaayo n’okubatizibwa, ajja kufuuka muganda waffe oba mwannyinaffe era mukozi munnaffe. Bino byonna bituleetera essanyu.—1 Bas. 2:19, 20.
3. Biki bye tuyinza okukola okusobola okufuna omuntu gwe tuyigiriza Bayibuli?
3 Naawe Osobola Okugwenyigiramu? Bw’oba nga wandyagadde okwenyigira mu mulimu guno ogusinga okuleeta essanyu, saba Yakuwa akuyambe okufuna omuntu ow’okuyigiriza Bayibuli era okolere ku kusaba kwo. (1 Yok. 5:14) Buulira mu bifo mw’oyinza okusanga abantu era gendayo mu biseera we babeererayo. Tegeeza abantu ku nteekateeka y’okubayigiriza Bayibuli buli lw’ofuna akakisa. (Mub. 11:6) Bw’osanga omuntu n’alaga okusiima era n’osiga ensigo ey’amazima, ddayo ogifukirire.—1 Kol. 3:6-9.
4. Lwaki tusaanidde okufuba ennyo okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli?
4 Wakyaliyo abantu bangi abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu. Ani anaabayamba okukussa obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo ng’abayigiriza Bayibuli? (Mat. 5:3, 6) Ka tweweeyo kyeyagalire okwenyigira mu kumaliriza omulimu gw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa ng’amakungula tegannakomekkerezebwa.—Is. 6:8.