Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesamba 13
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 13
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 27 ¶17-22, akas. lup. 279
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Ebyomumirembe 15-19
Na. 1: 2 Ebyomumirembe 15:8-19
Na. 2: Singa Omuntu Agamba nti: “Abakristaayo Balina Kuba Bajulirwa ba Yesu, so Si ba Yakuwa” (rs-E lup. 208 ¶3)
Na. 3: Tuyinza Tutya Okuwa Yakuwa Ekitiibwa nga Tumusinza?
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 15: Essomero ly’Omulimu gwa Katonda Erya 2011. Kwogera kw’omulabirizi akubiriza essomero. Ssa essira ku nsonga enkulu ezikwata ku kibiina kyammwe eziri mu programu y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya 2011. Bategeeze obuvunaanyizibwa bw’oyo akola ng’omuyambi w’akubiriza essomero. Kubiriza bonna okufuba okuwa emboozi zaabwe eziba zibaweereddwa, okubaako bye baddamu mu kitundu eky’okunokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Bayibuli okwa wiiki, era n’okussa mu nkola amagezi agaweebwa buli wiiki okuva mu kitabo Ssomero ly’Omulimu.
Ddak. 15: “Gikozese Buli lw’Ofuna Akakisa.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ng’okozesa amagezi agaweereddwa.