Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 29
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 29
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 6-9
Na. 1: 2 Ebyomumirembe 6:12-21
Na. 2: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Bayigganyizibwa? (rs-E lup. 207 ¶1-2)
Na. 3: Engeri gye Tuyinza ‘Okuwangula Obubi nga Tukola Ebirungi’ (Bar. 12:21)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: “Okusaba n’Okufumiitiriza—Bikulu Nnyo eri Ababuulizi Abanyiikivu.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Saba abawuliriza boogera ddi lwe bafumiitiriza.
Ddak. 10: ‘Ka Tuweeyo Ekirabo eri Yakuwa.’ Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Noovemba 15, 2010, olupapula 20-21.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Ddesemba. Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa eddakiika emu oba bbiri, yogera ku lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini. Oluvannyuma nokolayo ebitundu bibiri oba bisatu, era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bayinza okukozesa nga bagaba magazini ezo. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.