LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/10 lup. 3
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 10/10 lup. 3

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 25, 2010. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20 ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Ssebutemba 6 okutuuka mu Okitobba 25, 2010.

1. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Kabaka Azaliya (Uzziya)? (2 Bassek. 15:1-6) [w91-E 7/15 lup. 29-30]

2. Bwe kiba nti Kabaka wa Yuda ayitibwa Yosamu ayogerwako nti yafugira emyaka 16, lwaki 2 Bassekabaka 15:30 woogera ku “mwaka ogw’amakumi abiri” ogw’obufuzi bwe? (2 Byom. 27:7, 8) [it-2-E lup. 119 kat. 5]

3. “Abasamaliya” aboogerwako mu 2 Bassekabaka 17:29 baali baani? [it-2-E lup. 847 kat. 7]

4. Lwaki Yakuwa ayogerwako nga ‘abumba’ ekigendererwa kye? (2 Bassek. 19:25) [w99 9/1 lup. 3 kat. 3]

5. 2 Bassekabaka 25:8, 25, 26 wannyonnyola watya entandikwa y’okutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku myaka ensanvu Yerusaalemi gye kyandimaze nga kiri matongo? [it-1-E lup. 415 kat. 6–lup. 416 kat. 1-2; lup. 463 kat. 4]

6. Lwaki 1 Samwiri 16:10, 11 woogera ku Dawudi ng’omwana wa Yese ow’omunaana, ate nga Ezera amwogerako ng’ow’omusanvu? (1 Byom. 2:15) [w02-E 9/15 lup. 31]

7. Tuyinza tutya okukoppa Abaisiraeri abaali ebuvanjuba wa Yoludaani? (1 Byom. 5:10, 18-22) [w05 11/1 lup. 9 kat. 8]

8. Kiki kye tuyigira ku Baleevi abaggalanga enzigi? (1 Byom. 9:26, 27) [w05 11/1 lup. 9 kat. 9]

9. Okuyimba kwali kukulu kwenkana wa mu Isiraeri ey’edda? (1 Byom. 9:33) [it-2-E lup. 452 kat. 9]

10. Kikyamu ki ekyali ku ngeri Dawudi gye yeeyisaamu eyogerwako mu 1 Ebyomumirembe 13:11? [w05 11/1 lup. 11]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza