Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 23
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 23
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 2 Bassekabaka 5-8
Na. 1: 2 Bassekabaka 6:8-19
Na. 2: Lwaki Enkyusa za Baibuli Nnyingi Teziriimu Linnya lya Katonda oba Lwaki Lisangibwamu Emirundi Mitono Ddala? (rs-E lup. 193 ¶8–lup. 194 ¶4)
Na. 3: Okwegomba kw’Omubiri Kuyinza Kutya Okufuuka katonda? (Baf. 3:18, 19)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Mu Ssebutemba, Tandika Okuyigiriza Abantu Baibuli ku Mulundi gw’Oba Osoose Okubakyalira. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Mu Ssebutemba tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku bumu ku butundu obukalimu ku mulundi gwe tuba tusoose okubakyalira. Yogera ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Ddak. 20: “Osobola Okuwa Obujulirwa Embagirawo!”—Ekitundu 1. Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku butundu 1-8 ng’okozesa ebibuuzo. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri amagezi agoogeddwako gye gayinza okukozesebwamu.