LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/09 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 12/09 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Jjuuni Ddesemba 1

“Buli mwaka mu kiseera nga kino, bangi bakola ebintu eby’enjawulo ebikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu nga bagezaako okugoberera ebyo ebiri mu Kyawandiikibwa kino. [Soma Matayo 2:1, 11.] Weetegerezza enjawulo eriwo wakati w’ekyo Baibuli ky’egamba n’ebyo abantu bye bakola? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kyogera ku ebyo byennyini ebyaliwo.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 31.

Awake! Ddesemba

“Nnandyagadde okumanya endowooza gy’olina ku bigambo bino Yesu bye yayogera. [Soma Matayo 5:3.] Okuva bwe kiri nti waliwo amadiini mangi nnyo leero, olowooza kikulu okufaayo ku ngeri gye tusalawo okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri gye tuyinza okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.

The Watchtower Jjuuni Jjanwali 1

“Abantu ab’amadiini ag’enjawulo balina endowooza ezikontana ku nkozesa y’omwenge. Olowooza Katonda atwala atya omuntu anywa omwenge? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde nga Baibuli eraga nti lumu Yesu yafuula amazzi omwenge, era egamba bw’eti. [Soma Engero 23:20a.] Magazini eno eraga endowooza etagudde lubege Baibuli gy’erina ku mwenge.”

Awake! Jjanwali

“Mu biseera bino ebizibu, abantu bangi bakola nnyo era kibaviiriddeko okwennyamira. Naawe bw’otyo bwoli? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze amagezi gano amalungi. [Soma Omubuulizi 4:6.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwewala okugwa olubege ku bikwata ku mirimu, amaka, n’okuwummulamu. Era erimu amagezi amalungi agasobola okuyamba abo abanoonya emirimu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza