LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/09 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 12/09 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka omuli abaana, muyinza okugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, muyinza okubawa akatabo Okumanya, Sinza Katonda, Atwetaagisa Ki?, akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1995 tegunnatuuka. Febwali: Tujja kugaba akamu ku butabo buno bwe buba nga weebuli: Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible​—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama Eky’Okufuna Essanyu Mu Maka. Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, ababuulizi basaanidde okutandika okubayigiriza Baibuli.

◼ Ekijjukizo ky’omwaka 2011 kijja kubaawo ku Ssande, Apuli, 17, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Mutegeezeddwa nga bukyali kisobozese ebibiina ebiwerako ebikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka ekimu okufuna ebifo ebirala we binaateekerateekera omukolo guno.

◼ Obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo ky’omwaka 2010 obuli mu lulimi olukozesebwa buli kibiina bunaatera okuweerezebwa. Bwe wabaawo ennimi endala ezikozesebwa mu kitundu kyammwe era nga mwandyagadde okufuna obupapula obuli mu nnimi ezo, muyinza okubulagiriza amangu ddala nga bwe kisoboka nga mukozesa foomu eyitibwa Literature Request Form (S-14). Olukalala olulaga ennimi obupapula obwo mwe bukubiddwa lujja kuteekebwa mu bbaluwa eweerezebwa buli mwezi eri ebibiina eraga ebitabo ebiri ku ofiisi y’ettabi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza