Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 9
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 9
Oluyimba 71
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv sul. 12 ¶9-14
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Ekyamateeka 19-22
Na. 1: Ekyamateeka 22:1-19
Na. 2: Engeri y’Okusanyusaamu Katonda (lr-E sul. 40)
Na. 3: Abayudaaya ab’Omubiri Be Bokka Abali mu 144,000? (rs-E lup. 166 ¶5–lup. 167 ¶3)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 44
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Obuvunaanyizibwa Bwaffe obw’Okugaba Ebitabo. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 133, akatundu 1-3. Kiggumize nti buli mubuulizi asaanidde okukozesa obulungi ebitabo byaffe.
Ddak. 20: “Ddi Lwe Twandizzeeyo eri Abo Abaalaga Okusiima?” Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Lagayo ekyokulabirako ng’omubuulizi addayo eri omuntu eyalaga okusiima ng’alina ekiruubirirwa eky’okutandika okumuyigiriza Baibuli.
Oluyimba 9