Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga abantu abaagala okumanya ebisingawo, bawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? Bwe baba bagirina, ababuulizi basaanidde okufuba okutandika okubayigiriza Baibuli. Noovemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, muyinza okubawa akatabo Sinza, oba Okumanya, oba akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1995 tegunnatuuka. Era tuyinza n’okugaba brocuwa Atwetaagisa Ki? Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka omuli abaana, muyinza okugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Jjanwali: Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? Nnyinimu bw’aba akalina, muwe akatabo Okumanya, Sinza Katonda, brocuwa Atwetaagisa Ki?, oba akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1995 tegunnatuuka.
◼ Programu y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya buli mwaka tejja kuddamu kufulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mu kifo ky’ekyo, buli kibiina kijja kufuna programu eyo, era kopi emu esaanidde okutimbibwa mu kifo awatimbibwa amabaluwa. Ate endala omulabirizi w’essomero ajja kugisigaza agikozese ng’awa abayizi emboozi ze banaawa mu ssomero. Ababuulizi bajja kweyongera okufuna kopi zaabwe eza Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka buli mwezi, era zijja kubangako programu eya buli wiiki ey’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina, Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, n’ey’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza.
◼ Okutandika ne wiiki eya Maaki 1, 2010, tujja kuddamu okusoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Baibuli. Ebibiina ebyetaaga obutabo buno bisaanidde okubulagiriza nga biddamu okutumya ebitabo.